Minisita Charles Okello Engola, kati z’embuyaga ezikunta oluvannyuma lw’okukubwa amasasi
Minisita omubeezi ow’abakozi Charles Okello Engola, kati z’embuyaga ezikunta oluvannyuma lw’okukubwa amasasi mu maka ge e Kyanja mu ggombolola y’e Nakawa mu Kampala. Omukuumi we Private Wilson Sabiiti yasindiridde mukama we amasasi n’oluvanyuma naye neyetunuzaamu omudumu gw’emundu neyetta. Okusinziira ku bababaddewo, Sabiiti nga amaze okutta minisita agenze akuba amasasi mu bbanga okutuuka mu ka town k’e Kyanja naye gyeyetidde