Kayima omuggya atuuziddwa: Alabudde abemoolera ku ttaka lya Kakaba
Sarah Nanono Kaweesi, omwami wa Kabaka kati atwala essaza ly’e Mawokota alabudde abaami ba kabaka mu ssaza lino obutetantala kwenyigira mu mivuyo egyikolebwa abakulembeze naddala ekibba ttaka.
Kayima okwogera bino abadde ku mukolo gw’okumutuuza oguyindidde ku mbuga y’essaza lino e Butooro mu Mpigi nga gukoleddwa minisita wa gav’t z’ebitundu, Owek. Joseph Kawuki.