EKIZINGA TISAI:Abaayo babazimbidde oluguudo oluva ku lukalu
Abatuuze b’okukizinga kye Tisai ekisangibwa mu district ye Kumi bafunye akamwenyu ku matama oluvanyuma lwa ministule y’ebyobulimi okubazimbira oluguudo oluva ku lukalu okutuuka ku kizinga kino, era kati bagamba nti enkulakulaana ey’olekedde okulabikako ku kitundu kino olw’okuba nga nti eby’entambula byongedde okwanguwa.Bano bafunye n’amasanyalaze g’amaanyi g’enjuba oba Solar, nga kati basobola n’okufuna eby’okunywa ebinyogoga. Bino byona abeeno babadde bafuma bifume.