Eyalongoosebwa oluba alaajana: Anoonya ssente za kumutereza "face"
Omuwala Dativa Namwesezi gwetwakulaga ng’alongooseddwa oluba olw’ekizimba ekyali kyamukwata ku liiso , nate mu kaseera kano alaajana lwa bulumi mw’ayita ssaako n’embeera enkalubo mw’awangaalira olw’engeri face gyeyakyukakyukamu.
Ono agamba nti newankubadde yawona ekizimba, eriiso eryakosebwa limuluma ssonga n’engeri gy’asosolebwamu abantu gy’atambulira emusuza akukunadde. Namwesezi agamba nti abasawo baamutegeeza nga bw’asobola okulongoosebwa feesi ye n’etereezebwa, kyokka sente ze bamusaba tazirina.