ENKAAYANA KU TTAKA E SSI - BUYIKWE :Ebyalo mukaaga biri ku bunkenke
Abatuuze ku byalo mukaaga e Bukunja mu gombolola y’e Sii e Buyikwe bandifuna ku buweerero oluvanyuma lw’okukakasibwa nti sibaakusengulwa ku ttaka. Bano babadde bamaze emyaka 12 nga batiisibwatiisibwa okugobwa ku bibanja byabwe. Ettaka kwebali kuliko abantu babiri abalikaayanira nga n’esonga zino kati ziri mu kooti.