E Buvuuma, abatuuze balajana olw'enguudo embi
Abakoseza oluguudo oluva e Kirongo awagoba ekidyeri mu disitulikiti y’e Buvuma okuyingira mu bitundu bya Buvuma ebyenjawulo balajanidde abakulembeze okubayamba ku kkubo lino erifuuse akattiro Abasuubuzi n’abatuuze bagamba nti akasozi kano kabafuukidde ekizibu ng’emmaali yaabwe etokomokera wano nabalala okufiirwa obulamu Bagamba nti, embeera y’akasozi kano ate eyongedde okusajjuka oluvannyuma lw’enkuba okutandika okutonnya.