Basatu tebagenda kutuula bigezo byakamalirizo, tebalina ssente zakwewandiisa
Waliwo abaana 3 nga bonna bali mu bibiina byakamalirizo abasobeddwa ekyokukola oluvanyuma lw’okulemerwa okufuna ssente z’okwewandiisa okukola ebigezo byabye.
N’ebisale byessomero nabyo bagamba tebalina wakuzigya.
Maama waba baana bano yali mufumbi mu essomero erimu kyoka olw’omuggalo takyakola nga ne kitaabwe yaffa ekirwadde kya Kkansa.