Abatuuze be Kyabakuza banyikaavu olw'abatuuze okulemwa okuzimba eddwaliro
Abatuuze be Kyabakuza banyikaavu eri abakulembeze baabwe, bebagamba nti entalo zaabwe ziremesezza okuzimba eddwaliro lya Kyabakuza Health Centre II. Eddwaliro lino lyakamala ebbanga lya myaka ebiri nga liri ku musingi, ekyavirako ne ssente ezaalina okulizimba kuzzibwayo mu mu kitavu kya gavumenti mu mwaka gw’ebusmbi oggwa 2022/2023. Meeya we kibuga Masaka Florence Namayanja asuubiza nti okuzimba eddwaliro lin kwakuddamu mu bbanga ttono okuva leero.