Abasuubuzi bagala kusisinkana pulezidenti
Abasuubuuzi abegattira mu kibiina ki Kampala City Traders Association- Uganda balangiridde nti enkya bakeera kuggala maduuka gaabwe mu ggwanga lyonna nga bawakanya ekya gavumenti okulemwa okubawuliririza nga bakaaba olw’emisolo egyibatuuse mu bulago.
Bano bawera nti bwebaba ba kuyimiriza kwekalakaasa kuno, balina kusooka kusisinkana mukulembeze wa ggwanga sosi muntu mulala yenna. Kyoka poliisi e balabudde obutakozesa kifuba okutangira abalala okukola.