GEN. MUHOOZI KAINERUGABA: Museveni amutenderezza olwa mwoyo gwa ggwanga
President Yoweri Museveni agamba nti omuduumizi w’amagye aliko mu kiseera kino Gen. Muhoozi Kainerugaba, yayingira amagye lwa kubeera na mwoyo gwa gwanga, okugagaala ate nga teyaganoonyamu nsimbi era nga bino kwasinzidde okulaba nga akyusa ekifaananyi ky’ago nga agaweereza. Museveni, Okwogera bino abadde ku mbaga etegekeddwa okujjaguza emyaka ataano egy’amazaalibwa ga mutabani we Gen. Muhoozi Kainerugaba. Bino byabadde mu maka g’obwa presidenti e Ntebe akawungeezi k’eggulo.