PAASITA AKWATIDDWA: Poliisi emulanze kukuumira balwadde mu kkanisa ye
Poliisi egombye obwaala mu pasiita abadde yasibira munnamawulire mu kkanisa ye ng’akaatiriza nga bwasobola okumuwonya obulwadde obubaluma. Simon Peter Ogoba asuumba ekkanisa ya Galilee Ministry of Christ yakwatiddwa poliisi mu bitundu bye Teso oluvanyuma lw’okugaana munnamawulire Simon Ongodya ng’ono akola n’ekitongole ky'amawulire ekimu e Teso okugenda mu ddwaliro okujjanjabibwa ekizimba ku bwongo. Ongondya y’omu ku balwadde abalala 30 abasangidwa mu kkanisa eno era n’ababadde mu mbeera mbi ne baddusibwa mu ddwaliro ekkulu e Soroti okufuna obujjanjabi.