Abasajja abaakubiddwa abakazi: E Busia babiri banyiga ebiwundu mu ddwaliro
Mu Munisipaali y’e Busia ku Kyalo Mawero East B, eriyo abasajja babiri abali mu kunyiga ebiwundu oluvanyuma lw’okutulugunyizibwa ekibinja ky’abakazi ku nnaku ezenjawulo. Omu ku baatulugunyizibwa ye Ssaalongo Ssebuufu ng'ono abakazi bano baali bamubanja ssente emitwalo ena era nga baali bawambye n’enkoko ye. Abakulembeze mu kitundu kye Busia bagamba nti abakazi okutulugunya abasajja kweyongedde naye nga bangi tebaloopa nsonga zino mu b’obuyinza olw’okutya okuswala.