OKUWANDIISA BANNAKIBIINA: Aba NUP batongozza kaweefube, balabudde poliisi
Ekibiina kya National Unity Platform (NUP) olwaleero kitongozza kaweefube w’okuwandiisa abawagizi b’ekibiina mu ggwanga lyonna oluvannyuma lw’ennaku bbiri nga batendeka abagenda okuwandiisa bannakibiina. Pulezidenti w’ekibiina kino Robert Kyagulanyi n’abakulembeze b’ekibiina abalala bakubirizza abagenda okuwandiisa bannakibiina obutava ku mulamwa n’obutakkiriza kugulibwa. Balabudde n’abobuyinza obutalemesa nteekateeka za kibiina eziriwo mu mateeka nga n’enteekateeka ezikolebwa zonna bagamba ziri mu mateeka.