EBY’OKUTONDAWO EKIBIINA EKIPYA: Aba FDC y’e Katonga baakusalirawo mu ttabamiruka
Kitegeerekese ng'abekiwayi kya FDC ekye Katonga bwe balina ttabamiruka omwezi ogujja ng'ono yagenda okusalawo oba bano batondawo ekibiina ekijja oba nedda. Ssaabawandiisi ow'ekiseera ow'ekiwayi kino Harold Kaija, agamba nti mu nkungaana z'okwebuuza ze babaddemu ku nsonga eno bangi bawagira eky'okutondawo ekibiina ekijja Kaija era agamba nti singa basalawo okutondawo ekibiina, bajja kuba n'obudde obumala okwetegekera akalulu ka 2026.