Abalunzi e Mityana basomeseddwa okukaza omuddo gw'ebisolo
Abalunzi mu disitulikiti y’e Mityana basomeseddwa butya bwebasobola okubezaawo ebisolo byabwe mu budde bw’ekyeya. Bano babalaze butya bwebasobola okulima n’okukuuma omuddo gwebasobola okuliisa ente zaabwe mu budde bw’ekyeya kuba batawanyizibwa nnyo okunoonya kyebaliisa ente zaabwe.