Abalina Ebola baweza musanvu
Abantu kati musanvu bebakakasiddwa okuba n’ekirwadde kya Ebola mu disitulikiti y’e Mubende, n’abantu abakuumirwa mukifo mwebalondoolebwa nabo beeyongedde obungi. Ete eby’embi waliwo abalwade basatu e Madudu abaduse ku basawo nga bagenze okubakima batwalibwe mu ddwalro e Mubende oluvanyuma lw’okuzuulwamu obubonero bw’ekirwadde kino. Ate yyo e Kabarole abaayo baatudde bukubirire okutema empedda butya bwebagenda okweng’angamu ekirwadde kino singa kibalumba.