Abaddukanya e ddwaliro e Mubenda, bali mu bweraliikirivu olw’ebula ly'amasannyalaze
Abaddukanya e ddwaliro ekkulu e Mubenda, bali mu bweraliikirivu olw’amasannyalaze agamaze ebbanga nga tegaliiko, ekitadde obulamu bw’abalwadde mu katyabaga Bagamba nti kati ebyuma ebisinga byaafa olw’ebbula ly’amasanyalaze, so nga ne ssente z’okubiddaabiriza zibeekubya mpi. Abakuku mu kitongole ki UMEME bagamba ensonga eno tebagimanyangako.