Abaafuna embuto nga tebanneetuuka bawereddwa UGX 350M okubangulwa mu by'emikono
Ekitongole ki Microfinance Support Centre kitandiseewo enteekateeka y'okuyambako abawala abaawanduka mu masomero mu disitulikiti y'e Kamuli. Bano baliko ensimbi obukadde 350 zebawade disitulikiti eno nga zakusomesa abawala abazaala nga tebannetuuka eby'emikono. Bino byogeddwa nga ab’enteekateeka y’emyooga bafundikira enteekateeka y’okulondaala zi Sacco ezaweebwa ensimbi zino n’enkozesa yaazo.