Ab'e Kirinya batabukidde munnaabwe abadde abazibidde ekkubo
Abatuuze ku kyalo kirinyabigo mu Division y’e Bunnamwaya e Makindye ssabagabo batabukidde omu ku batuuze gwe balumiriza okuziba ekkubo ng’asimamu ebinya. Bano nga bakulembeddwamu Meeya w'e kitundu kino Jacob Akuguzibwe balagide abatuuze okuziba ekinya Bagamba nti mutuuze munaabwe ono yaakagula poloti ku kyalo kino, kyoka kibabuseeko okulaba nga atandise okuziba ekkubo lye yasangawo.