Waliwo ekkungaanyizo ly'amasannyalaze Museveni lyatongozza e Nebbi
Omukulembeze w’e ggwanga Yoweri Museveni yekokodde parliament gyagamba nti enfunda nyingi emuleremesa okutuusa obuwereza eri banna Uganda. Museveni agamba nti mu mwaka gwa 2005, Parliament yamulemesa okukola endagaano n’abamerica abaali bagenda okuzimba ebibiro ly’amasanyalaze ery’e Bujagaali, nga babo baali bagenda okukendeeza ku bbeeyi gyegatundibwa mu ggwanga. Museveni bino eby’ogeredde Nebbi gy’abadde mu kutongoza ekunganyizo ly’amasanyalaze agagenda okuyamba abantu b’omu West Nile okuwona ekibululu.