Tukola ekisoboka okumalawo ekizibu ky'omujjuzo mu makomera - Karemani
Essiga eddamuzi lisuubizza okukwatagana n'ekitongole ky'makomera okukendeeza sinakindi okumalawo omujjuzo mu makomera. Okusinziira ku Jameson Karemani ayogerera essiga eddamuzi wakyaliwo okusoomoozebwa kw'ebbula ly'abalamuzi ekivuddeko emisango egyenjawulo okukandaalirira ennyo mu kkooti. Eggulo ssenkulu wa makomera Dr Johnson Byabashaija yategeezezza ng'omuwendo gw'abasibe abali ku alimanda bwegweyongedde okussa akazito kitongole kino.