TUKKAANYIZZA NE GAVUMENTI :Abakebera sampolo bakomezza akeediimo kaabwe
Abakulembeze mu kibiina ekigatta abakebera obulwadde oba Lab technicians mu malwaliro ga gavumenti basabye banaabwe bebakulembera okuddayo ku mirimu okutandika n'olunaku lwenkya .Bano baali bediima nga baagala gavumenti nabo ebongere emisaala .Kyoka bagamba nti batuuse ku nzikiriziganya ne minisitule y'abakozi ba gavumenti nti ensonga zaabwe zigenda kukolebwako mu bbanga lya mwezi gumu.