Ttabamiruka wa Birigiwa: Lukwago alondeddwa ku bwa pulezidenti bwa FDC obwekiseerra
Loodi Meeya, Erias Lukwago alondeddwa ku bwa pulezidenti wa FDC obw’ekiseera, oluvanyuma lw’abamu ku bakungu abatudde mu ttabamiruka atudde e Katonga okusalawo okuyimiriza pulezidenti w'ekibiina, Patrick Amuriat. Mu Ttabamiruka akubiriziddwa ssentebe w’ekibiina kino, Wasswa Birigwa ku ofiisi za katonga road, abakungu era bafuumudde Ssaabawandiisi Nandala Mafabi nebamusizika omumyukawe, Harold Kaija sso nga n’omuwanika Geoffrey Ekanya naye olukiiko lumusudde ettale. Biriggwa era alinnye kikomera okusobola okutuuka mu kifo awategekeddwa ttabamiruka ono.