Theodore Ssekikubo aweze okuwakanya ebyavudde mu kulonda e Lwemiyaga
Omubaka w’e Lwemiyaga Theodore Ssekikubo agamba nti waakwekubira enduulu mu kakiiko k’eby'okulonda aka NRM okuwakanya ebyavudde mu kulonda e Lwemiyaga ebyalaze nti Munnamagye Emmanuel Rwashande ye yawangudde bendera y’ekibiina. Yadde nga talabikidde ku kamera zaffe, Ssekikubo agamba nti okulonda kuno kwetobeseemu vvulugu nga n'olwekyo takkiriziganya nabyavuddemu Abawangudde ebifo mu disitulikiti ye Ssembabule bamalirivu nti baakuwangula abanabeesimbako mu kalulu ka bonna aka 2026. Bino bibaddewo ekiro ekikeseza olwaleero.