SSENTE ZA DISITULIKITI EZ’OKWEKULAAKULANYA: Waliwo ababaka abakukkuluma ku ngabanya
Waliwo ababaka abemulugunya ku ngeri ensimbi z'embalirira y'omwaka gw'ebyensimbi ogujja gyezigabanyiziddwamu eri disitulikiti. Ababaka balumiriza ba minisita okuwa disitulikiti gyebava ensimbi enyingi ez'okwekulaakulanya bwogerageranye n'enddala. Wabula Minisita omubeezi ow'ebyensimbi bano abaanukudde.