OLUTALO MU UKRAINE: Russia eddirizza mu nnumba zaayo
Gwaweze omwezi okuva eggwanga lya Russia erikulemberwa Putin lwe lyalumba erya Ukraine n’ekigendererwa ekyokuliwamba. Wabula, eggwanga lya Russia lyali lisuubirwa okutuukiriza kino mu nnaku mbale bubaze naye lisanze obuzibu nga kaakano likyusizza n'obwanga livudde ku ky'okuwamba ekibuga ekikulu Kyiv.