Okwola ataliiko mwasirizi, eyasuulibwa mu kaabuyonjo nga muto kati yeyagaza
Okwola omwana si kyangu eri ayola n’omwana k’ennyini ayolebwa. Eyasuulibwa mu kaabuyonjo nga y’akazaalibwa n’aggyibwayo abazirakisa abaamuwulira nga akaaba ne bamutwala ku Ssanyu Babies home anyumya obulamu bwe. Omuwala kaakano aweza emyaka 22. Waliwo abaasalawo okumwola nga baamuggya ku Ssanyu Babies Home abeenyumiriza mu muwala ono. Bano nabo batubuulidde bye bayiseemu okumutuusa w’ali.