NAZZIKUNO :Laba engeri ab’edda gye baakolanga omwenge
Omwenge kya kunywa abasinga kyebettanira nga bawulidde erinnya eryo wabula ate abamu bekanasa nebatanywa nga bamaze okutegeera ekika kyagwo ekituufu ekiriwo .Omwenge guno gulimu ebika ebyenjawulo okuli Mwenge Bigere oba Ttonto,Waragi kwosa namannya amalala nga era byona biva mumubisi ogukamulwa okuva mu mbidde ezakuno,kumulundi guli twakulaga enteekateeka zona ba jjajja effe zebayitangamu okuyiisa mwenge bigere.Kati olwaleero tugenda kulaga bajjajja ffe bwebayongera ngamu obuka kumwengenge bigere nebafuna Waragi eyabakuba nga ebigo kwosa n’okubasuza nga ku makubo anti nga entegetege zi beganye.