Waliwo abalimi abatwaliddwa e Dubai okugaziya akatale k’emmere ey’obutonde
Mu kaweefube w’okussa Uganda ng’emu ku mawanga amakulu mu katale k’emmere ey’obutonde, kkampuni ya Green World eyefunyiridde eby’obulimi ebivaamu ensimbi, eriko Bannauganda 17 b’etutte e Dubai ng’emu ku nteekateeka yaabwe okunonyeza abantu akatale k’ebirime byabwe. Ennima egoberera obutonde yetaniddwa baangi wano mu Uganda n’ekigendererwa eky’okulaba ng’eddwadde ziva ku kulya emmere enkolerere zikendeera kko n’okufuna akatale n’addala ebweru w’eggwanga. Bano bagamba nti akatale ke Dubai kajja kuwa abalimi baakuno omwagaanya okutunda ebintu byabwe ebweru enyingiza y’eyongere.