Okulonda e Lwemiyaga :Waliwo okulonda neera gye kuyiise, Ssekikubo akukkuluma
Waliwo ekyalo ekiyitibwa Sagazi mu ssaza Lwemiyaga okulonda gye kuyiise omulundi ogwokutaano mu kamyufu Ka NRM oluvannyuma lw’emivuyo egyabaddemu n’okukuba abalonzi .Abamu ku baabadde bessimbyewo balumiriza amagye n’abawagizi ba Rwashande okukola effujjo ku balonzi ekyabalemesezza okulonda .Onojjukira nti ku lwokutaano Omubaka w’e Lwemiyaga ne Munnamagye eyagannyuka Brig. Rwashande bakkaanya okukoma ku bawagizi baabwe okulonda kusobole okutambula obulungi, wabula oyinza okugamba nti bino byakomye mu bigambo.