Akamyufu Ka NRM: E Kireka D Muyanja y’awangudde, ebyokwerinda bisiibye binywevu
Umaru Muyanja y'alangiriddwa ku buwanguzi mu kamyufu ka NRM akekyalo Kireka D, bwafunye obululu 137 mu kulonda okuddiddwamu olwaleero Onojjukira nti okulonda ku kyalo kino okwaliwo ku lwokubiri lwa wiiki eno kwayiika olw'emivuyo egyetobekamu omwali n'okulwanagana Ebyokwerinda ku mulundi guno bibadde binywevu nnyo okulaba ng'embeera teva mu nteeko.