Nabbanja Akoze Olutindo: Lugenda kugatta Kakumiro ku Hoima ne Kyankwanzi
Waliwo olutindo Ssaabaminsiita wa Uganda Robinah Nabbanja lwatereddewo abantu b’omu tawuni kanso ye Kisiita mu disitulikiti ye Kakumiro okugonza ebyentambula yaabwe okutuuka mu disitulikiti endala okuli Kyankwanzi ne HoimaOlutindo luno olugatta Nyabirungi ku Banananywa luzimbiddwa ku mugga Mpongo era nga lusuubirwa okutumbula ebyobusuubuzi mu kitundu .