Bangi batenderezza obuweereza bw’a Msgr. Expedito Magemba mu mmisa eyenjawulo
Olwaleero abantu abenjawulo batenderezza Musinya Expedito Magembe olw'obuweereza bwe obulese omukululo ogwamaanyi mu eklezia katolika.Bino bibadde mu misa eyenjawulo etegekeddwa ku kifo ky'okusabiramu, Musinya Magembe ono kye yatandikawo e Bukalango ng'eno yettabiddwako ne Minisita omubeezi ow'ebyenjigiriza ebyawaggulu. Musinya Magembe yafudde lwakutaano lwa wiiki eno.