ENTANDA ERI ABAFUMBO:Ssaabasumba Kasujja abasabye okufaayo eri abaana
Omubaka wa Paapa eyawummula Augustine Kasujja akuutide abazade obuteesulirayo gwannagamba mu nkuza y’abaana.Kasujja agamba nti abazadde abasinga basuulirira obuvunaanyizibwa bwabwe kyagamba nti kyekiviirideko abaana okula omuwawa.Ssaabasumba Kasujja abadde akulembedemu misa y’abafumbo ku Lutikko e Lubaga .