Okwekalakaasa kw’abavubuka: Ebyokwerinda bisigadde binywevu, waliwo abakwatiddwa
Enguudo ezeebunguludde palamenti zikyali nzigale era eby’okwerinda bikyali binywevu ng’okuyitawo omuntu asooka kwenyonyonyolako nnyo era abalemereddwa okumatiza ab’ebyokwerinda tebakkiriziddwa kweyongerayo okusukka emisanvu gya poliisi egyateereddwawo. Mukino ab’ebyokwerinda bagezaako kutangira bantu abasuubirwa okwekalakaasizza ku palamenti nga bawakanya obuli bw’enguzi obugenda maaso mu ggwanga. Mumbeera eno waliwo bannakyewa abakwatiddwa nga bano babadde bateekateeka kwogerako ne bannamawulire ku mbeera eriwo ey’abantu okwekalakaasa nga bawakanya obuli bw’enguzi.