OKWEGATTA KU MUKAGO: Somalia eri ku kalebwerebwe
Ekibinja ky’abakungu okuva mu mawanga ga East Africa kisitudde nekyolekera e Mogadishu mu ggwanga lya Somalia okwetegereza oba Somalia esaanidde okuyingizibwa mu mukago gwa East Africa.
Ekibinja kino kikulembeddwamu munnamateeka w’omukago Dr. Anthony Kafumbe. Omusasi waffe Jjingo Francis kabituwe okuva e Somalia.