Okwediima kw’abasuubuzi: Jinja , Mbale, Mbarara tebabiriimu
Abasuubuzi mu bibuga okuli eky’e Jinja, Mbale ne Mbarara bbo bakedde kuggulawo maduuka gaabwe kukola Wadde nga waliwo bannaabwe abagaggadde nga bawakanya enkola ya EFRIS Bano batubuulidde nti kivudde ku kuba nti tebalina bukulembeze bwa muzinzi obusobola okubaako ne kye bubasalirawo so ng'abamu bagamba eby’okwediima babadde tebabimanyiiko. Eriyo n’abagamba nti bakolerera mmere ya leero nga tebayinza kudda mu bya kuggala maduuka newankubadde ensonga nabo zibakosa.