OKUWOZESA ABANTU BAABULIJJO MU KKOOTI Y’AMAGYE :Akakiiko k’eddembe kawandiikidde aba kkooti eno
Akakiiko k'eddembe ly'obuntu aka Uganda Human rights commission kawandiikidde kkooti y'amagye nga kagisaba ekomye okuwozesa abantu babulijjo mu kkooti eno.Akulira ekitongole kino eky'eddembe ly'obuntu Mariam Wangadya akakasizza nga bweyawandikiidde abakulu bano nga abasaba basse ekitiibwa ku musalawo okwakolebwa kkooti etaputa amateeka. Wabula amagye gategeezezza nga bwegalagira dda ttiimu yabwe eyabannamatteeka okutegeeza Ssaabawolereza wa Gavumenti ajjulire mu nsonga zino.