OKUWA OBULAMU EKITIIBWA: Omusumba Zziwa yenyamidde olw’abamala gattibwa
Akulira Olukiiko lw 'abepisikoopi wano mu Uganda era omusumba w'essaza lya Kiyinda Mityana Anthony Zziwa agamba bennyamivu n'engeri ebikolwa by'obutassa kitiibwa mu bulamu bw'abantu gyebigenda byeyongeramu. Omusumba Zziwa agamba ky'ekiseera abantu okukula mu mwoyo, ng'ebikolwa ng'ebyokutta abateberezebwa okuba abazzi b'emisango, saako obutujju tebizimba Ggwanga wabula okulizza emabega. Okwogera bino omusamba abadde awa obubaka bw'ekleziya obwamazalibwa.