OKULWANYISA SSIRIIMU E MASAKA: Abatuuze boogedde okusoomooza okuliwo
Abawangaalira ku mwalo gw'e Namirembe mu bitundu by'e Masaka bagamba ekisinze owongera okusaasaana kwa akawuka akaleta ssirimu butabeera na bupiira bu kalimpitawa n'abavubi abamu obutayagala kukozesa bupiira buno bwebubaawo. Ekitundu bino eky'e Masaka ky'ekisingamu abantu abalina akawuka ka mukenenya okusinziira ku kunoonyereza okwakolebwa minisitule y'ebyobulamu.