OKULWANYISA EBOLA: Ekibiina ky’abasawo kyagala gav’t yeeyambise abatalina mirimu
Ekibiina ekigatta abasawo mu gwanga ekya Uganda Medical Association kissabye gavumenti eteekewo ekibinja ky’abasawo ab’enjawulo okugyikwasizaako mu kaweefube w'okulwanisa ekirwadde kya Ebola. Okusinzira kw’akulira ekibiina kino Dr. Samuel Oledo, abasawo abali eyo mu 2000 tebalina mulimu nga basobola okweyambisibwa mu kiseera kino ng'eggwanga lyanganga ekirwadde kino Omuwendo gw'abaakafa Ebola kati gulinye okutuuka ku abiri mu omu song’ate abantu 16 bebakakasidwa okuba n’ekirwadde kino okusinziira ku b'ebyobulamu.