OKULAYIZA MUSEVENI: Abamu ku banayuganda nabo bazize omukolo
Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’omukulembeze w’eggwanga Esther Mbayo ategeezezza nga abakulembeze b’amawanga 21 bwe bakakasizza okubaawo ku kulayira kw’omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni. Ono era atubuulidde nga bwe baayise n’abantu Museveni beyavuganya nabo ku kalulu akaakaggwa okubaawo ku mukolo guno. Kyokka aba DP, NUP ne ANT bagamba nti ne bwe banaayitibwa sibaakulinnyayo.