OKUKULA AWATALI TAATA: Florence Nassaazi anyumya embeera mw’ayise
Okumu ku kusomoozebwa okuliwo ensangi zino kwekwabaana abakula nga tebalina ba Taata . Abamu bayinza okuba nga baafa , abalala nga baabulabubuzi , so nga waliwo n'abo abatefiirayo nga kumpi balinga abaafa . Embeera eno eviirako abaana bangi okukula nga benyamidde olumu nekibaviirako nebizibu by'obwongo .
Olwaleero katuwulire emboozi ya Florence Nassazi amaze emyaka 32 nga tamanyi kitaawe gyali