OKUGOBA BA KAMIISONA BA PALAMENTI :Emikono gyeyongedde , waliwo ababaka abawakanya
Waliwo ababaka abavuddeyo ne bawakanya ekyokusa emikono ku kiwandiiko ekigendereddwamu okuleeta ekiteeso eky’okugoba ba kamisona ba palamenti bana ku buvunanyibwa buno olw’okwezibika akawumbi kamu n’obukadde lusanvu.Ababaka bano bagamba nti ekiteeso kino tekiriko bujulizi buluma aboogerwako, ate nga tekigoberera mateeka agalungamya palamenti,.Kyoka abasoloza emikono bagamba nti kati bawezeza emikono 131 era nga babuzayo emikono 46 okutuuka gwejo gye bagala 177 ate nga buli kye bakola kiri mu mateeka.