OKUFUMBIZA ABATANNEETUUKA: E Kyotera omuze guludde nga weeguli, baguvumiridde
Abakulembeze mu district y’e Kyotera bategeezezza nga omuze gw’okufumbiza abaana abatanneetuuka mu ngeri y’okubawamba obuwambi bwe gukyali mu kitundu kino kyokka nga gusirikirwa abazadde n’abamu ku batuuze mu kitundu ababa bagutegeddeko.Kino kizzeewo oluvannyuma lw’ebigambibwa nti waliwo amaka ku kyalo ky’e Kabuta mu ggombolola y’e Kakuuto mu district y’e Kyotera abeekobaanye okufumbiza muwala waabwe ow’emyaka 16 mu ngeri y’okumuwamba obuwambi.Waliwo akatambi akaasaasaanye nga kalaga nga omuwala ono awambibwa.