OBUBBI BWA WAYA Z’AMASANNYALAZE: Waliwo ekikwekweto ekikoleddwa e Masaka
Poliisi e Masaka nga eri wamu ne kampuni eyaweebwa eddimu ly'okubunyisa amasannyalaze mu bitundu eby’enjawulo mu Masaka bakoze ekikwekweto ku bantu ababba waaya n'ebyuma okuva ku miti gy'amasanyalaze.
Kinajjukirwa nti ku ntandikwa ya sssabiiti eno poliisi yategeeza nga bweyafuna okuwabulwa okuva ewa SSaabawaabi wa Gavumenti nga ababba waaya z’amasanyalaze bwebasobola okuggulwako ogw’obutujju