NRM etaddewo akakiiko akagenda okuwulira okwemulugunya kw'ebyavudde mu kulonda
Ekibiina ki NRM kitaddewo akakiiko akagenda okuwulira okwemulugunya kw'abo bonna abatakkaanya nabyavudde mu kulonda okwakamyufu Abamu ku bataddeyo okwemulugunya ye Hajji Abdul Nadduli alabudde nti ssinga NRM tetereeza byakulonda ekibiina kyolekedde okugwa mu mikono gy'abantu abakyamu. Okwemulugunya kuno kwakutwalibwa ku kitebe ky'akakiiko k'ebyokulonda era abamu ku bawagizi b'abesimbyewo mu kamyufu kano bakedde kugumba ku kitebe kino.