Nabbanja asisinkanye bannayuganda e Dubai, baliko bye bamusabye akoleko
Banayuganda abakolera mu buwalabu basabye gavumenti etondewo ekifo eky’enjawulo abo abatuntuzibwa abantu bebakolera gye basobola oddukira okwekubirira enduulu. Mu lunsinsikana gye babaddemu ne Ssaabaminisita wa Uganda Robinah Nabbanja mu gwanga lya United Arab Emirates, banayuganda bategezzeza nti ebiseera bingi basanga obuzibu mu mirimu gye bakola kyokka nga tebalina wakudda wadde ne webasobola okufuna obuyambi.