Museveni alambudde gye bakolera bbaasi za Kayoola
Pulezidenti Yoweri Museveni agamba takyakiriziganya nakyakuddamu kulagiriza bbaasi okuva mu mawanga agebunaayira. Museveni agamba nti kati eggwanga lisobola okukolera wano bbaasi, era nga ebyuma byoka ebyenkizo byebirina okulagirizibwa. Ono era takiririza namubyakuyungira wano bbasi. Olwaleero omukulembeze w'eggwanga atongoza ekkolero lya Kiira Motors e Jinja awakolerwa bbaasi, nga omulimu guno gwatandika mu 2019.