Minisita Omona yennyamidde olwengeri ekiragiro ku balaalo kyekiremeseddwamu
Minisita w’ensonga z’amambuka ga Uganda Dr. Keneth Omona yenyamidde olw’engeri abakulembeze abamu okuli n’abebyokwerinda gyebalemesezaamu enteekateeka ya government ey’okussa mu nkola ekiragiro ky’omukulemeze we ggwanga eky’okusengula abalaalo okuva mu mambuka ga Uganda. Omona abadde mu district Madi Okolo, Nebbi ne Pakwach ng’alondoola engeri ekiragiro ky’omukulembeze w’eggwanga kino gyekisiddwa mu nkola. Abakulembeze bamulopedde ng’ekiragiro kino abamu bwebakifula olusuku mwebayuunja.